1 Chronicles 22:2-5

Enteekateeka ey’okuzimba Yeekaalu

2 aDawudi n’alagira okukuŋŋaanya bannaggwanga abaali mu Isirayiri, era mu bo n’alondamu abatemi b’amayinja, bagabajje nga kuzimbisa nnyumba ya Mukama. 3 bYateekawo ebyuma bingi olw’okukola emisumaali egy’enzigi egya wankaaki, n’olwebigatta, n’ebikomo bingi ebyayinga obungi n’obuzito. 4 cYawaayo n’emivule egitabalika, Abazidoni n’Abatuulo gye baamuleetera.

5 dDawudi n’ayogera nti, “Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto n’obumanyirivu bwe butono. Ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey’ekitiibwa ekinene ennyo, ng’eyatiikirira era ng’etenderezebwa mu mawanga gonna. Noolwekyo nzija kuteekateeka ebinaagizimba.” Era Dawudi yakola entegeka nnene ddala nga tannaba kufa.

Copyright information for LugEEEE